Okukkiriza Kwe Nnyini


Ekintu ekisooka kye njagala okubuuza mmwe abasoma akapapula kano kye kino nti, muli bakristaayo? Omukristaayo kitegeeza okufaanana nga Kristo. Mu bulamu bwo okola ebintu Yesu bye yakolanga mu bulamu bwe? Yatambulanga ng’akola ebirungi, ng’awonya abaali bajoogebwa Setaani.

Ekigendererwa kyo n’ekirubirirwa kyo mu bulamu kye kiki? Kikulu nnyo okuba nti ekigendererwa kyo kituufu, oba si bwekiri ekintu ky’okola kikyamu, si nsonga oba kirabika bulungi kitya. Ekigendererwa kyo kufuna maka, oba mmotoka, n’ensimbi mu bbanka, oba kukola bya busuubuzi, oba kumanyibwa n’okufuna ettutumu n’obuyinza mu nsi muno? Mukwano gwange, kuno okwole sebwa kubi nnyo. Singa ggwe wali omusajja asinga obugagga n’obumanyifu n’amaanyi mu nsi, bino byonna butaliimu, nokukooya omwoyo. Kabaka Sulemaani ow’omu Bayibuli yalina ebintu bino byonna, naye era yabiyita butaliimu.

Okulaba ekisa mu maaso ga Katonda kye ky’obugagga kyennyini ate nga tekiggwaawo. Okubeera omuyigirize kayingo ku bikwata ku bintu byonna eby’obulamu kya butaliimu. Kubanga byonna ebiri mu nsi muno bya kusaanawo mu kiseera kitono, era tewalibaawo kintu kyonna ekirijjukirwa.

Bwe twogera ku kweteekerateekera eby’omu maaso biri ludda wa? Tebiri na Katonda? Bayibuli etutegeeza ati omutima gwa Kabaka guli mu mikono gye, era agukyuusa gy’ayagala yonna ng’emigga egy’amazzi.

Yaatonda ebirungi n’ebibi era alina ekkubo lye mu byombi, okusinziira ku byawandiikibwa.

Teri bulamu bujja mu nsi eno oba eddirira awatali Katonda. Lumu nnayogera n’omuweereza wa Katonda ku by’obulamu bwe obw’omu maaso. Yali yeteekateeka okukolera Katonda mangu ddala nga yaakamala okusasulira amaka ge" naye mu kiseera we yali asasulira essente ezisembayo, omu ku baana be naagwa mu nnyanja eyali emmanju we nnyumba. Kyandibadde kisingako singa byonna yali abiwaddeyo eri Katonda ku ntandikwa.

Omusajja yajja mu lumu ku nkunngaana zaffe ez’ekiro" era, Omwoyo wa Katonda bwe yali akola ng’asembeza emmeeme mu kwenenya, yaweebwa omukisa okukkiriza obulokozi, naye nabugaana. Olunaku olwaddirira, mu maka we baamuziika nnamutunula mu maaso ng’omulambo gwe guli mu ssanduuko. Okufa kwajja mangu ddala ng’amaze okugaana Katonda. Yali teyetegekedde bulamu bwe bwa mu maaso.

Mu lukungaana olulala, nnakubiriza abasajja babiri benenye, nabo ne bagaana. Waayitawo akaseera katono bombi ne bafa. Kyanditutte ebbanga ddene singa mbategeeza ebintu ebibaddewo mu buweereza bwange, nga bikakasa nti tewali bulamu bwa mu maaso awatali Katonda.

Teri mirembe eri omubi, Bayibuli bwetutegeeza. Waliwo eddoboozi ery’entiisa mu matu g’omugagga eritasirika. Okutawaanyizibwa bulijjo olw’okutya okw’okufiirwa abaagalwa bo" obulwadde, eddalu n’ebyentiisa, mu kkubo ly’obulamu, eyo embeera ya nnaku nnyo. Okukakaalukana n’okufuba ng’ogezaako okwewala obwaavu oba okufiirwa ebintu byaffe bye tukolerera ennyo, n’okuyisa bantu bannaffe obubi, si bulamu. Obulamu bw’eddiini obw’obunnanfuusi nga twerimba buli lunaku n’ebirowoozo ebitukakasa nti tulina okukkiriza n’essuubi so nga tebiri munda mitima gyaffe, oyinza okugamba nti buno bulamu?

Ekigendererwa kyaffe ekyomunda, nga tuweereza bantu bannaffe kiteekwa kubeera bwesimbu era bulijjo tuteekwa okuba nga tuwulira obuvunaanyizibwa bw’ekifo ky’okubeera omukuumi wa muganda waffe. Buli omu kuffe aliwo olw’okuweereza okw’engeri emu oba endala okwa muntu munne. Katonda akitegese bw’ati, n’olwekyo tuli bakuumi ba muganda waffe. Kayini yatta Aberi era nagaana okubeera omukuumi wa muganda we, olw’okweyagala ye yekka. Katonda agenda kuwa buli kinnoomu empeera okusinziira ku bikolwa bye. Oyo afuna obugagga, so si lw’amazima, ennaku ze nga zikyali za kitundu bulimuvaako ne ku nkomerero ye alibeera musirusiru, ebyawaandiikibwa bwe bitutegeeza.

Tolowooza ku maka malungi gokka, n’engoye n’emmotoka by’olaba abantu nga babirina. Tolowooza ku kitiibwa, n’ettutumu n’ekifo mu bulamu byokka, naye lowooza ku masomero g’abalalu, amalwaliro g’akafuba, amalwaliro, amawulire agafulumizibwa buli lunaku mu mpapula z’amawulire, n’ebikangabwa eby’omu bulamu, okugeza ng’enngombe z’emmotoka ezirangirira akabi mu kibuga eziwulirwa buli kiseera. Ebikolwa bino awamu n’okutya, n’okwenyiwa bintegeeza nti obulamu tebuliimu ebyo byokka. Waliyo obulamu obusinga obulimu embeera ey’essanyu, emirembe n’obutuukirivu. Okuweereza Katonda kwe kuleeta embeera eno.

Eddoboozi lye limu ery’okwegayirira erigenze liyita mu byaasa, era lye likyakowoola ggwe nange. Lye ddoboozi lya Katonda, eriyita mu buweereza bw’abaddu ba Katonda ne mu baana ba Katonda, nga begayirira abantu, kasookedde ensi etandika.

Eddoboozi lino erya Kristo lyeyimusa mu mirembe egyayita. Lyegayirira mu nnaku za Nuwa ng’okuzikiriza tekunnabaawo. Lyegayirira mu biseera bya Kristo ng’ebikangabwa eby’okugwa kwa Yerusaalemi tebinnabaawo. Lyayogera eri abantu nga bayita ku lukalu, nga balwanyisa abayindi, nga banoonya aw’okwekweka emiyaga gy’obulamu, mu biseera byabwe eby’okuvumbula bye tuyita ebyafaayo eby’omwada oguwedde. Okuviira ddala mu biseera ebyayita, waaliwo okukowoola okweggonjebwa okw’ebigambo eby’omusajja owe Galiraaya eyalekebwa ettayo, eyabonaabona ku lulwo ne ku lwange. Leero lye ddoboozi lye limu eryegayirira, nga lyegayirira nnyo n’amaanyi ensi eya nnakalyako ani. Mukwano gwange, kaakati nkubuuza ekibuuzo kino nti, “Lwaki tetufaayo ku kuvita kuno ne tukyuka okuva mu bulamu obw’okwegulumiza ne tugenda n’abo abatailna bukulu?”

Kristo yagamba nti omulembe guno ogusembayo oba ogukomererayo abantu bagenda kuba bakakanyavu, abegulumiza, abavumi, abaguguba, era nga beyagala okusinga bwe baagala Katonda. Paulo yagamba nti bano be bantu abalituukibwako enkomerero z’emirembe. Bangi ku mmwe be njogera nabo, mumaze okusiriiza ebirowoozo byammwen’ekyuma ekyokya era nga temukyasobola kuwulira kintu kyonna, kuba mumaze okwewaayo eri omwoyo wa Setaani, abakozese empisa zonna ez’obutatya Katonda.

Oluvannyuma lw’okumanya nti buli kintu kigenda kuzikirizibwa, era n’ensi ng’egenda kwokebwa, Peetero yabuuza nti, “Tugwanidde kuberanga tutya mu mpisa entukuvu, nga twegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka?”

Peetero oyo y’omu eyaweebwa ebisumuluzo by’obwakabaka, yayimirira ku lunaku lwa Pentekote, ekkanisa lwe yasooka okunywezebwa, naggulawo oluggi eri abantu ab’emirembe gyonna. Enkumi ssatu ne bayingira mangu ago.

Ku bantu obukadde obubiri n’ekitundu oba obusatu abali ku nsi leero bameka kubo abanassaayo omwoyo eri ebigambo by’omukulembeze ono omukulu ow’obuiamu obwangu, ng’eddoboozi lya Kristo likowoola okuyita mu mimwa gye, nga likowoola abantu b’emirembe gyonna?

Kuno okukowoola kwa kwenenya, okubatizibwa mu linnya lya Yesu Kristo olw’okusonyiyibwa ebibi olyoke osobole okuweebwa ekirabo eky’Omwoyo Omutukuvu kubanga kyammwe era kya baana bammwe n’abo bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe. Oli mw’abo abakowoolwa?

Bayibuli yagamba nti abantu bano ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw’abatume. Jjukira, tewali kkubo ddala.

Mwalokoka lwa kisa iwa kuukiriza, tekwava mu bikolwa omuntu yenna alema okwenyumirizanga, naye kye kirabo kya Katonda. Baawulira ekigambo nga Peetero abuulira, bakkiriza Ekigambo n’okukkiriza okuva mu kuwulira Ekigambo, Ekigambo ne kibikkulibwa mu bulamu bwabwe, olw’ekikolwa eky’okugondera ekigambo kya Katonda Peetero kye yayogera. Amangu ago baafuna okubatizibwa okw’omwoyo Omutukuvu, Omwoyo wa Katonda ow’obulamu obutaggwaawo, obulokozi era n’amaanyi ag’okuzuukira.

Okusuubiza Katonda kwe yasuubiza Ibulayimu, mu Kristo, kwatuukirira ku lunaku lwa Pentekote, Peetero bwe yagamba nti “Kino kye kisuubizo eri abo bonna abaliyitibwa Katonda waffe.”

Tugambibwa okunyweza okuyitibwa n’okulondebwa kwaffe. Tuyinza tutya okumanya nti tuli mw’abo Katonda be yasooka okumanya? Kitutegeeza nti tulondebwa okusinziira ku kutegeera kwa Katonda okwasooka mu kutukuza kw’Omwoyo olw’okugonda n’okumansirwako omussayi gwa Yesu Kristo.

Katonda yatuwa byonna eby’obulamu n’eby’okutya Katonda, eyatuyita olw’ekitiibwa n’obulungi bwe. Ebyatuweesa ebisuubizibwa eby’omuwendo omungi, ebinene ennyo. Olw’ebyo mulyoke mugabanire wamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirizibwa okuli mu nsi olw’okwegomba.

Olunnyiriri olw’okutaano, lututegeeza nti bwe tuleeta ku lwaffe okufuba kwonna ku kukkiriza kwaffe twongerengako obulungi, era ne ku bulungi bwaffe okutegeera, era ne ku kutegeera kwaffe okugumikiriza, era ne kukugumikiriza kwaffe okutya Katonda, era ne ku kutya Katonda kwaffe okwagala ab’oluganda, era ne kukwagala ab’oluganda kwaffe okwagala. Kubanga bwe muba n’ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n’ababala ebibala. Kubanga ataba n’ebyo ye muzibe w’amaaso awunawuna, bwe yerabira okunaazibwako ebibi bye eby’edda.

Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa" okwagala tekuba na buggya" tekwekulumbaza, tekwegulumiza, tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyigga, tekusiba bubi ku mwoyo" tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima" kugumiikiriza byonna, kukkirirza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna.

Yesu yagamba nti, tugenda kumanya omukristaayo olw’ebibala by’obala. Tumanyi nti tuvudde mu kufa ne tujja mu bulamu" kubanga twagala ab’oluganda. Katonda kwagala. Oyo abeera mu kwagala, abeera mu Katonda.

Naye ebibala by’omwoyo kwe kwagala okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng’ebyo tewali mateeka. Ebintu bino bwe birabika mu bulamu bwo, bikakasa nti oli kw’abo abayitibwa era abalonde.

Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Paulo yatugamba tuleme okulimbagananga.

Buuliranga ekigambo" kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu" werenga, nenyanga, buuliriranga n’okugumiikiriza kwonna n’okuyigiriza. Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu naye, amatu nga gabasiiwa, balikunngaanya abayigiriza ng’okwegomba kwabwe bo bwe kuli, baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.

Omuntu yenna bw’ayigirizanga obulala, oba bw’ayigirizanga enjiri yonna etekwata ku kutya Katonda, nga yekulumbaza, nga taliiko ky’ategeera wabula okukalambiza obukalambiza empaka, omuva okukaayana n’okulowooza okubi, oyo wa malala. Tewali akola bulungi" tewali n’omu. Bonna baawaba ng’endiga, buli muntu yakyamira mu kkubo lye, era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe, okubonerezebwa okw’emirembe gyaffe kwali ku ye. Njogera ku kukkiriza okwaweebwa abatukuvu, kkiriza Mukama waffe Yesu Kristo olwa leero. Okusaba kwange kuli nti, Katonda akuwe omukisa.

Bya George Leon Pike Sr.

Founder and first President of Jesus Christ’s Eternal Kingdom of Abundant Life, Inc.

Obutukuvu Eri Mukama

Obubaka buno bukubibwa bulyoke bugabibwe bwereere. Oba oyagala obupapula obusingawo, waandiika ng’okozesa endagiriro wammanga era otegeeze obupapula bumeka bw’oyinza okukozesa n’amagezi.

LUG9915T • LUGANDA • THE FAITH